Ezekiel 36:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwaza abantu mu mmwe, ennyumba yonna eya Yisirayeli; ebibuga birisengwamu n'amatongo galiddawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri nga bweyenkana, ebibuga birituulwamu n'ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndyaza abantu ababeera mu mmwe, Eggwanga lya Yisirayeli lyonna. Ebibuga biribaamu abantu, era buli kifo ekyafuuka amatongo, kirizimbibwa buggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndyaliza abantu ku mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri, yonna bwe yenkana n'ebibuga birituulwamu n'amatongo galizimbibwa: