Ezekiel 36:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwaza ku mmwe abantu n'ebisolo; biryeyongera obungi ne bizaala. Ndibasenzaako abantu nga bwe gwali mu kusooka, ndibaaliza ebintu n'okusinga nga bwe gwali edda; olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndyaza abantu n'ensolo era abantu balyeyongera okuzaala era n'ensolo, era ndibazzayo ewammwe, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka, kale mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwendo gw'abantu ababeera mu mmwe era n'ogw'ensolo, ndigwongerako obungi. Abantu baliba bangi n'okusinga abaaliwo mu mmwe edda, era balizaala abaana bangi. Ndibafuula mmwe ensi ebeerekamu, n'okusinga we mwasookera okusengebwamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndyaza ku mmwe abantu n'ensolo; era balyeyongera, balizaala: era ndibawa okutuulwako, nga mumaze okuba bwe mutyo, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka kwammwe: kale mulimanya nga nze Mukama.