Ezekiel 36:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuwa abantu, abantu bange Yisirayeli, batambulire ku mmwe; bajja kubafuna ng'abaabwe, mulifuuka busika bwabwe, temuliddayo kubamalako baana baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nditambuliza ku mmwe, abantu bange Isiraeri, balibafuga era muliba mugabo gwabwe, era temuliddamu kutta baana baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndireka abantu bange Abayisirayeli ne bababeeramu, ne muba ensi eyaabwe ku bwabwe, era temuliddayo kubattira baana baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, nditambuliza ku mmwe abantu, abantu bange Isiraeri; era balikulya, naawe oliba busika bwabwe, so tolibafiiriza nate abaana okuva leero.