Ezekiel 36:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga baboogerako nti: “Olya abantu, n'eggwanga lyo n'olimalako abaana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti, Ggwe ensi, oli muli wa bantu, wasaanyaawo abantu b'eggwanga lyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Abantu bagambe nti ggwe Yisirayeli, oli nsi etta abantu baayo n'efiiriza eggwanga lyayo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti Ggwe ensi, oli muli wa bantu, era waliisizanga eggwanga lyo;