Ezekiel 36:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno tojja kuddayo kulya bantu, n'eggwanga lyo toddeyo kulimalako baana, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olw'ekyo toliddayo kusaanyaawo bantu, era tolifiiriza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okuva kati toliddayo kutta bantu, wadde okufiiriza eggwanga lyo. Bwe ntyo bwe ŋŋamba nze, Mukama Afugabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyoliva olema okulya abantu nate, so tolifiisiza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda;