Ezekiel 36:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sirikuleka kuwulira nate kujolongebwa kw'amawanga n'okuvumibwa abantu, yadde okuleka eggwanga lyo okuddamu okumalawo abaana baalyo, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toliddamu nate kuwulira kusekererwa kw'amawanga, wadde okuvumibwa abantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sirikuleka kwongera kuwulira ng'amawanga amalala gakusunga, wadde ng'abantu bakuvuma, era toliddamu kufiiriza ggwanga lyo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so sirikuganya nate okuwulira ensonyi z'ab'amawanga, so tolibaako nate kuvumibwa kwa bantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.