Ezekiel 36:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli bwe baasulanga mu nsi yaabwe, bagijaajaamya olw'amakubo gaabwe n'ebikolwa byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'empisa zaabwe n'olw'ebikolwa byabwe, era empisa zaabwe zaali ng'obutali bulongoofu bw'omukazi mu kweyawula kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bwe baali mu nsi yaabwe, baagyonoonera mu ngeri gye beeyisangamu, ne mu bikolwa byabwe. Engeri gye beeyisangamu, nagirabanga nga njama ng'ebiwero ebikozeseddwa omukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, ennyu mba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'ekkubo lyabwe n'olw'ebikolwa byabwe: ekkubo lyabwe mu maaso gange lyabanga ng'obutali bulongoofu bwa mukazi mu kweyawula kwe.