Ezekiel 36:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakubo gaabwe ganfaananira ng'obwonoonefu bw'omukazi mu biseera bye eby'omwezi. Kwe kubamalirako obusungu bwange olw'omusaayi gwe baayiwa ku nsi, n'olw'okugyonoona n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe bayiwa mu nsi, era n'olw'okugyonoona nga basinza ebifaananyi byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabamalirako obusungu bwange, olw'obutemu bwe baali bakoledde mu nsi eyo, era kubanga baali bagyonoonye nga basinza ebitali Nze Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe baali bafuse ku nsi, era kubanga baali bagyonoonye n'ebifaananyi byabwe: