Ezekiel 36:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabasaasaanya mu mawanga, ne bamansibwa mu nsi; nabalamula nga nsinziira ku makubo gaabwe ne ku bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi, ne mbasalira omusango ng'empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe bwe byali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabasalira omusango olw'engeri gye baali beeyisaamu, n'olw'ebikolwa byabwe, ne mbasaasaanya mu mawanga mangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi: nnabasalira omusango ng'ekkubo lyabwe bwe lyali era ng'ebikolwa byabwe bwe byali.