Ezekiel 36:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: Omulabe yagamba ku ggwe nti: “Otyo, ensozi ez'edda zifuuse zaffe.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga omulabe aboogeddeko nti ‘Otyo!’ Ebifo ebigulumivu eby'edda kaakano byaffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: Abalabe bo ggwe Yisirayeli bakwewaaniddeko ne bagamba nti: Otyo, kakubye! Kaakano ensozi ezo ez'edda zaffe, tuzeefunidde!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga omulabe aboogeddeko nti Nyeenya! era nti Ebifo ebigulumivu eby'edda byaffe, tubiridde: