Ezekiel 36:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagenda eyo mu mawanga, buli gye baalaganga nga boonoona erinnya lyange, kubanga baaboogerangako nti: ‘Bano bantu ba Mukama, naye ate baalina okuleka ensi ye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baava mu nsi ye.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu buli ggwanga gye baagendanga, baavumisanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga abantu baaboogerangako nti: ‘Bano bantu ba Lubaale gwe bayita Mukama, kyokka bavudde mu nsi ye!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti Bano bantu ba Mukama, era bavudde mu nsi ye.