Ezekiel 36:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nnyumba ya Yisirayeli, kye nnaakola siikikole lwa kubeera mmwe, wabula lwa kubeera linnya lyange lye mwayonoona mu mawanga gye mwagenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Sikola kino ku lwammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Kye ŋŋenda okukola, sikikola ku lwammwe, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, naye ku lwa linnya lyange ettukuvu, lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Sikola kino ku lwammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.