Ezekiel 36:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwoleka obutukuvu bw'erinnya lyange ekkulu eryayonoonebwa mu mawanga, lye mwayonoona mu makkati gaabwe; olwo amawanga galimanya nti nze Mukama,’ Omukama Katonda y'agamba, ‘bwe ndiraga obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiraga amawanga erinnya lyange eryekitiibwa bwe liri ettukuvu, mmwe lye mwavumaganyisa mu go. Olwo amawanga ago galimanya nga Nze Mukama. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Bye ndikolera mmwe, bye birigalaga bwe ndi omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe.