Ezekiel 36:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Anti nzija kubaggyayo mu mawanga, mbakuŋŋaanye okuva yonna mu nsi, mbakomyewo mu nsi yaabommwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibakuŋŋaanya mmwe, ne mbaggya mu buli nsi ne mu buli ggwanga, ne mbakomyawo mu nsi eyammwe ku bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe.