Ezekiel 36:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubamansirako amazzi agatukula era mulitukula; ndibatukuzaako obujama bwammwe bwonna n'ebifaananyi byammwe ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu, ndibalongoosa ne mbaggya mu bibi byammwe byonna ne mu bifaananyi byammwe byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndibamansirako amazzi amayonjo, ne muba balongoofu nga mbatukuzza ne mbaggyako obujama bwonna, n'okusinza ebitali Nze Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu: ndibalongoosa mu mpitambi yammwe yonna ne mu bifaananyi byammwe byonna.