Ezekiel 36:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubawa omutima omuggya, mbateekemu omwoyo omuggya; mu mubiri gwammwe nzija kuggyamu omutima ogw'ejjinja mbawe omutima ogw'ennyama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Era ndibawa omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya mu mmwe. Ndiggya mu mmwe omutima gwammwe omukakanyavu ng'ejjinja, ne mbateekamu omutima omugonvu era omuwulize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.