Ezekiel 36:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubawonya mu bwonoonefu bwammwe bwonna; ndiyita eŋŋano, ndigiwa okwala; siribaleetera njala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna; era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndibaggyako buli ekibafuula abatali balongoofu. Ndibasobozesa okweza eŋŋaano n'eba nnyingi, ne mutaddayo kulumbibwa njala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna: era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala.