Ezekiel 36:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno langa, ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga baabavunjaga, ne babawemmenta ku njuyi zonna, ne mufuuka eky'okufuna eky'amawanga amalala, emboozi n'olugambo lw'abantu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale yogera nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, baabaccocca ne babayigganya enjuyi zonna, amawanga amalala gabalye, era mwafuuka eky'okwogerwako era ne baboogerako eby'obulimba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale langa, olangirire ekyo, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba. Abantu ab'amawanga agabeetoolodde baabafuula matongo, ne babanyaga okuva ku njuyi zonna, mufuuke bitundu bya mawanga ago, era ne babanyooma nga babavuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, kubanga babalekesezzaawo, era babalidde enjuyi zonna, amawanga agafisseewo gabalye, era musituliddwa mu mimwa gy'aboogezi ne mu bigambo ebibi eby'abantu: