Ezekiel 36:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibala ku miti ndibiwa okwala, bwe ntyo era ne ku birime by'omu nnimiro, muleme kuddayo kuswala mu mawanga olw'enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okusekererwa nate mu mawanga olw'enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibawa ekyengera, eky'ebibala eby'oku miti n'eby'omu nnimiro, mulemenga kuba na njala ya kubaswaza mu mawanga malala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okuweebwa nate ekivume eky'enjala mu mawanga.