Ezekiel 36:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku lunaku lwe ndibatukuzaako ebibi byammwe byonna, ebibuga byammwe ndibisenzaamu abantu, ebifulukwa ne mbizimba buggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n'ebifulukwa biriddabirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Bwe ndibatukuza ne mbaggyako ebibi byammwe byonna, ndibaleka ne muddamu okubeeranga mu bibuga byammwe, n'okuzimba obuggya buli kintu ekyafuuka amatongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n’amatongo galizimbibwa