Ezekiel 36:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ebadde amatongo eririmibwa, mu kifo ky'okulabika ng'erekeddwa awo ettayo mu maaso ga buli muyise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nate ensiko mu maaso g'abo bonna abaagiyitaangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyayitanga ku nnimiro zammwe, yalabanga nga zizise zifuuse nsiko, naye ndibaleka mmwe ne muddamu okuzirima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensi eyalekebwangawo eririmibwa, naye yabanga nsiko mu maaso g'abo bonna abayitawo.