Ezekiel 36:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baligamba nti: “Ensi eno eyali efuuse amatongo kati eri ng'ennimiro ya Edeni; ebibuga ebyali bifuuse ebifulukwa, ebyalekebwa awo ettayo ne byonooneka, kati kuliko ne bbugwe era bisulwamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balyogera nti, Ensi eno eyali ezise efuuse ng'olusuku Edeni; n'ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano bikoleddwako bbugwe era birimu abantu ababibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu aligamba nti: ‘Ensi eno eyali erekeddwawo ettayo, efuuse ng'ennimiro y'e Edeni, n'ebibuga ebyali birekeddwawo ne bizika, kati bikoleddwako enkomera, abantu ne babibeeramu!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balyogera nti Ensi eno eyalekebwangawo efuuse ng'olusuku Adeni; n'ebibuga ebyazika ebyalekebwawo ebyagwa bikoleddwako enkomera, abantu ne babituulamu.