Ezekiel 36:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Na kino nakyo nzija kuleka ennyumba ya Yisirayeli esabe nkibakolere: okwongera abantu babe ng'endiga obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era njagala ennyumba ya Isiraeri okunsaba ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu babeere ng'ekisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiddamu okukkiriza ab'Eggwanga lya Yisirayeli okunsabanga mbeeko kye mbakolera, era ndireka abantu ba Yisirayeli ne beeyongera okuba abangi ng'eggana ly'endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ajagala ennyumba ya Isiraeri okumbuuzanga ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu ng'ekisibo.