Ezekiel 36:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'endiga emponge, ng'endiga mu Yeruzaalemu mu nnaku enkulu, bwe bityo ebibuga ebibadde ebifulukwa bwe birijjula amagana g'abantu; olwo balimanya nti nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balyala ng'ekisibo kya ssaddaaka, ng'ekisibo kyo mu Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa ebibuga ebyali amatongo bwe birijjula bwe bityo enkuyanja y'abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebyalekebwa awo ne bizika, birijjula abantu, nga Yerusaalemu bwe kyajjulanga endiga ez'okutambira mu mbaga zaakyo ezaalagirwa. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ekisibo ekya ssaddaaka, ng'ekisibo ekya Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa; ebibuga ebyazika bwe birijjula bwe bityo ebisibo eby'abaatu: kale balimanya nga nze Mukama.