Ezekiel 36:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Mu kubabirirwa kw'obuggya bwange nayogerera amawanga amalala ne Edomu abezza ensi yange mu kusanyuka okw'ekitalo n'obunyoomi mu mutima obuyitirivu, ne baaya amalundiro gaayo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n'eri Edomu yonna abeesunga okulya ensi yange, nga bajjudde essanyu n'okujooga mu mitima gyabwe, ne bagifuula okuba omuyiggo gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde nga nsunguwalidde nnyo ab'amawanga agaliraanyeewo, naddala erya Edomu, abeegabira ensi yange ne bagifuula eyaabwe nga bajjudde essanyu n'obunyoomi olw'okugifuula omunyago!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogeredde mu muliro ogw'obuggya bwange eri amawanga agafisseewo n'eri Edomu yonna abeeteekeddewo ensi yange okugirya, omutima gwabwe gwonna nga gusanyuse, emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugisuula okuba omuyiggo: