Ezekiel 36:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno langa ku nsi ya Yisirayeli, ogambe ensozi n'obusozi, enkonko n'ebiwonvu nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yogera eri ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogera nga nzijudde obuggya n'obusungu, mwasekererwa nnyo amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale langa ebifa ku nsi ya Yisirayeli, otegeeze ensozi n'obusozi, obugga n'ebiwonvu, ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nga nnina obusungu n'obuggya, kubanga byaswazibwa ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale lagula eby'ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogezezza obuggya bwange n'ekiruyi kyange, kubanga mwabangako ensonyi ez'ab'amawanga: