Ezekiel 36:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ndayira nti: amawanga agabeetoolodde nago gajja kuswazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna ndayira, nti mazima ab'amawanga agabeetoolodde be baliswazibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima ab'amawanga agabeetoolodde abo be balibaako ensonyi zaabwe.