Ezekiel 36:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe, nsozi za Yisirayeli, mujja kutojjeza buto amatabi, mubale n'ebibala olw'abantu bange Yisirayeli, kubanga bajja kudda mu bbanga ttono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye mmwe, ayi ensozi za Isiraeri, mulireeta amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala kubanga banaatera okudda ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe ensozi z'omu Yisirayeli, mulibeerako emiti, ne gisuula amatabi gaagyo, ne gibalira abantu bange Abayisirayeli ebibala, kubanga banaatera okudda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe, ai ensozi za Isiraeri, mulisuula amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala byammwe; kubanga banaatera okujja. Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa: