Ezekiel 36:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti nzuuno nzija gye muli, nzija kukyukira gye muli, mujja kulimibwa, musigibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndibakwatirwa ekisa, nammwe mulirimibwa, ne musigibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye nga nze ndi ku ludda lwammwe, era nja kufaayo okulaba nga mulimibwa era nga musigibwamu ensigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa: