Ezekiel 37:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nnanga nga bwe yali andagidde, omukka ne gubayingiramu, ne balamuka, ne bayimirira ku bigere byange, eggye eddene ennyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nenjogera nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, ne baba eggye ddene nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nnanga nga bwe yandagira. Omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira ku magulu gaabwe, nga baweramu eggye eddene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndagula nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, eggye lingi nnyo.