Ezekiel 37:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, amagumba gano gonna ye nnyumba ya Yisirayeli. Bo bagamba nti: ‘Amagumba gaffe gaakala; tekyali ssuubi; twakutulwako.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era n’essuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: kubanga boogera nti, ‘Amagumba gaffe gakala era n'essuubi lyaffe lyaggwaawo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bali ng'amagumba gano. Bagamba nti: ‘Tuli ng'eŋŋumbagumba ezikaze. Tetukyalina kye tusuubirayo gye bujja. Tuzikiridde biwedde!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: laba, boogera nti Amagumba gaffe gakaze, n'essuubi lyafe libuze; tumaliddwawo ddala.