Ezekiel 37:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, langa obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kwasamya amalaalo gammwe, mbaggyeyo mu ntaana zammwe, mmwe bantu bange; ndibakomyawo mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyonoova owa obunnabbi gye bali n’oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale yogera obagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ayi abantu bange, ne mbazzaayo mu nsi ya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale langa, obagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna, agamba nti: Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, ne mbazzaayo mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale lagula obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange: era ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri.