Ezekiel 37:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mmwe mulimanya nti nze Mukama, mmwe bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbaggya mu ntaana zammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ayi abantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange.