Ezekiel 37:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubassaamu Mwoyo wange mulamuke; nzija kubateeka mu nsi yammwe; olwo mulimanya nti nze Mukama nze njogedde, ate nkikoze, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze Mukama nkyogedde, era nkikoze, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe, kale mulimanya nga nze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditeekamu Mwoyo wange mu mmwe ne mulamuka, ne mbateeka mu nsi eyammwe ku bwammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, Nze nkyogedde, era nga mmaze n'okukituukiriza, Nze Mukama Afugabyonna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe: kale mulimanya nga aze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama.