Ezekiel 37:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, ddira omuggo ogw'omuti oguwandiikeko nti ‘gwa Yuda n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye’. Oddire n'omuggo omulala ogw'omuti owandiikeko nti ‘omuggo gwa Efurayimu: gwa Yozefu n'ennyumba ya Yisirayeli mikwano gye’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, n'abaana ba Isiraeri abakolagana nabo. Oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti, ‘Gwa Yusufu, era ye Efulayimu, ne nnyumba yonna eya Isiraeri abakolagana nabo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, ddira omuggo, oguwandiikeko nti: ‘Gwa Yuda ne Bayisirayeli banne.’ Oddire omuggo omulala, owandiikeko nti: ‘Gwa Yosefu, ye Efurayimu, ne Bayisirayeli banne.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, era gwa baana ba Isiraeri banne: olyokke oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, era gwa nnyumba yonna eya Isiraeri banne: