Ezekiel 37:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakubuuza nti: ‘Tootubuulire ky'oyagala kutegeeza na bino?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti, ‘Tootunnyonnyole makulu g'ebyo byonna bwe gali?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakusaba okubannyonnyola kino kye kitegeeza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana b'abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti Tootunnyonnyole makulu bwe gali g'oleeta na gino?