Ezekiel 37:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onoobagamba nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kuddira omuggo gwa Yozefu, gwe muggo gwa Efurayimu n'abantu ba Yisirayeli mikwano gye, nguyunge ku muggo gwa Yuda, ngifuulemu omuggo gumu; girifuuka omuggo gumu mu mikono gyange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obagambanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri bwe bakolagana nabo, ne mbateeka wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu mu mukono gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ojja kubagamba nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiddira omuggo gwa Yosefu ogukwatiddwa Efurayimu n'ebika bya Bayisirayeli banne, nguteeke wamu n'ogwa Yuda, gyombi ngifuule omuggo gumu, ngukwate mu ngalo zange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri banne; era ndibateeka wamu nagwo, wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu, kale ne baba gumu mu mukono gwange.