Ezekiel 37:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Abayisirayeli nzija kubakwata mbaggye mu mawanga gye baalaga. Nzija kubakuŋŋaanya eyo yonna, mbaleete mu nsi yaaboobwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza okuva wonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
obagambe nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiggya Abayisirayeli mu mawanga gye baagenda, ne mbakuŋŋaanya ne mbakomyawo mu nsi eyaabwe ku bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga, gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza enjuyi zonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo: