Ezekiel 37:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubafuulamu eggwanga limu mu nsi yaabwe ku nsozi za Yisirayeli; kabaka omu y'aliba afuga bonna; tebaliddayo kubeera mawanga abiri, yadde okwawulwamu obwakabaka obubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibafuula eggwanga erimu mu nsi ku nsozi za Isiraeri, balifugibwa kabaka omu, tebaliddamu kwawulibwamu nate okuba obwakabaka obubiri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibagatta ne mbafuula ggwanga limu mu nsi eyo, ku nsozi z'omu Yisirayeli. Baliba ne kabaka omu alibafuga bonna, era tebaliddayo kwawulwamu kuba mawanga abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ndibafuula eggwanga erimu mu nsi ku nsozi za Isiraeri; era kabaka omu ye aliba kabaka waabwe bonna: so tebalyawulibwa nate okuba obwakabaka bubiri n'akatono: