Ezekiel 37:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaliddayo kwegwagwawaza na bifaananyi byabwe ebya balubaale n'ebyenyinyalwa byabwe n'emisango gyabwe gyonna; nzija kubawonyaayo mu kuddirira kwabwe kwonna kwe baagwamu; nzija kubatukuza; balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era tebaliddayo kweyonoona n'ebifaananyi byabwe, n'ebintu byabwe eby'emizizo, wadde okusobya kwonna okulala. Naye ndibalokola okuva mu bifo byonna gye baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebalyongera kwefuula batali balongoofu na kusinza bitali Nze Katonda, n'okweyonoona nga bakola ebyenyinyalwa, wadde ebintu ebirala ebikyamu. Naye ndibaggya mu nneeyisa yaabwe mwe baakoleranga ebibi, ne mbatukuza. Olwo banaabeeranga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tebalyeyonoona nate n'ebifaananyi byabwe newakubadde n'ebintu byabwe eby'emizizo newakubadde n'okusobya kwabwe kwonna: naye ndibalokola okuva mu nnyumba zaabwe zonna, mwe baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.