Ezekiel 37:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza wange Dawudi y'aliba kabaka waabwe; baliba n'omusumba omu bonna. Baligobereranga ebiragiro byange, n'amateeka gange baligakwatanga ne bagatuusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu, era n'okutambula balitambulira mu biragiro byange, ne bakwata amateeka gange ne bagakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi omuweereza wange, ye anaabanga kabaka waabwe. Bonna banaabeeranga n'omusumba omu. Banaakolanga bye mbalagira, era banaakwatanga amateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu: era n'okutambuba balitambulira mu misango gyange ne bakwata amateeka gange ne bagakola.