Ezekiel 37:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balisula mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baasulanga; baligisulamu bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe emirembe gyonna, ne Dawudi omuweereza wange nga ye mulangira waabwe emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange, bajjajjammwe mwe baabeeranga, kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe, emirembe gyonna. Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaabeeranga mu nsi gye nawa Yakobo omuweereza wange, ensi bajjajjaabwe mwe baabeera. Balibeera omwo, bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe, emirembe gyonna. Era Kabaka Dawudi omuweereza wange ye anaabafuganga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange bajjajjammwe mwe baabeera kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe emirembe gyonna: era Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna.