Ezekiel 37:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikola nabo endagaano ey'eddembe; endagaano ey'olubeerera. Ndibatebenkeza ne mbawa okwala; ekifo kyange ekitukuvu nzija kukissa mu makkati gaabwe emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano ey'olubeerera, era ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera, ebakakasa nga baliba mirembe. Ndibanyweza ne mbawa okwala, ne nteeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano eteriggwaawo gye bali: era ndibateekawo ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna.