Ezekiel 37:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo amawanga galimanya nti nze Mukama atukuza Yisirayeli, ekitukuvu kyange bwe kiribeera mu makkati gaabwe emirembe gyonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale amawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nditeeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna, olwo amawanga galimanya nga nze, Mukama, nze nalonda Yisirayeli okuba abantu abange ku bwange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale amawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.