Ezekiel 37:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, olowooza gano amagumba gayinza okulamuka?” Ne nziramu nti: “Mukama wange, ggwe wekka gw'omanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?” Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gw’omanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?” Ne nziramu nti, “Ayi Mukama Katonda, ggwe omanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ambuuza nti: “Ggwe omuntu, amagumba gano gayinza okufuna obulamu?” Ne nziramu nti: “Ayi Mukama Afugabyonna, ggwe omanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu? Ne nziramu nti Ai Mukama Katonda, ggwe omanyi.