Ezekiel 37:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubassaako ebinywa; mbamezeeko ennyama, mbabikke n'olususu; nzija kussa mu mmwe omukka mulamuke, olwo mulimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibateekako ebinywa n’ennyama ne mbabikkako n’olususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibateekako ebinywa, era ndireeta ennyama ku mmwe, ne mbateekako olususu, ne mbateekamu omukka, kale mulimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nja kubateekako ebinywa n'ennyama, mbabikkeko n'olususu, mbateekemu omukka, mube balamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibateekako ebinywa, era ndireeta ennyama ku mmwe, ne mbabikkako eddiba, ne mbateekamu omukka, kale mulimanya nga nze Mukama.