Ezekiel 37:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nnanga nga bwe nali ndagiddwa. Mba nnanga, ne wabaawo eddoboozi, eddoboozi ery'okugolongotana, amagumba ne gayungagana, ggumba ku ggumba linnaalyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng’ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nga bwe nnalagirwa; awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng'ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nnanga, nga bwe nalagirwa. Awo bwe nali nga nnanga, ne wabaawo eddoboozi. Amangwago ne wabaawo okukankana kwe nsi, amagumba ne gatandika okwegattagatta, eggumba ku linnaalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndagula nga bwe nnalagirwa: awo bwe nnali nga ndagula, ne wabaawo eddoboozi, era, laba, ekikankano ky'ensi, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo.