Ezekiel 37:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mba nkyatunudde, ne kujjako ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lubibikka; naye mu byo temwali mukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntunula, ebinywa n’ennyama ne birabika ku go, n’olususu ne luddako, naye temwali mukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ntunula, n'endaba nga gazeeko ebinywa, omubiri n'olususu, naye nga temuli mukka mu go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe neekaliriza amaaso, ne ndaba ng'amagumba gazzeeko ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lugabikkako kungulu. Naye nga temuli mukka mu mibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntunula, era, laba, nga kuliko ebinywa, omubiri ne gujja, eddiba ne ligabikkako waggulu: naye nga temuli mukka mu go.