Ezekiel 37:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aŋŋamba nti: “Langa eri omukka; langa, mwana w'omuntu nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Owange mukka, vva mu nsonda ennya, ofuuwe ku battibwa bano balamuke.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana w’omuntu, ogambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “yogera eri omukka, yogera omwana w'omuntu, ogambe omukka nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Jjangu okuva eri empewo ennya, ayi omukka, oyingire mu bano abattibwa, babeere abalamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa, ogambe empewo nti ‘Ggwe empewo, Mukama Afugabyonna, akulagidde ove mu buli nsonda, ojje ofuuwe ku mirambo gya bano abattibwa, baddemu okuba abalamu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Lagula empewo, lagula, omwana w'omuntu, ogambe empewo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti jjangu okuva eri empewo ennya, ai omukka, ofuuwe ku bano abattibwa, babeere abalamu.