Ezekiel 38:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku olwo ebirowoozo birikujjira mu mutima, n'oteesa ekintu ekibi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebirowoozo ebibi birikujjira, naawe olitegeka okukola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba Googi nti: “Olunaku olwo bwe lulituuka, olifuna ebirowoozo ebibi, n'okola entegeka ez'enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebigambo birijja mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubi: